menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 days 19 hours ago
265 Views

Share this story

Kkooti enkulu mu Kampala eyimiriza okulonda kwa LC mu ggwanga lyona.
Okulonda kwobukiiko bwabakyala kubadde kutandinka nkya.

Kkooti enkulu mu Kampala eyisiza ekiragiro ekiyimiriza okulonda kwa LC mu ggwanga lyona. Kino kiddiridde okwemulugunya okwatwaliddwayo  nga kuwakanya okulonda kuno, olwokuba nga abayizi aba simiya eyomukaaga, eyokutaano ne siniya eyokuna mu kiseera kino abali ku masomero nga nabamu bakola bigezo .Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu e Jinja Lessy Byaruhanga naye ayisiza ekiragiro kyekimu olwaleero. Kino amyuka omuwandiisi wa kkooti mu Kampala Sarah Langa  akkiriziganyiza nakyo. Okwemulugunya kuno eno kutwaliddwayo James Tweheyo nga ayita mu bannamatteekabe aba Caleb Mwesigwa and company advocates. Ono agamba nti abayizi ba siniya eyomukaaga abawera emitwalo kumi, emitwalo nkaaga aba siniya ekiutaano, saako aabsuka mu mitwalo ataano aba siniya eyokuna bagya kuba bamiddwa eddembe lyabwe eryobwebange. Okuwulira okwemulugunya kuno mu bujjuvu kwakubaawo nga 15 november 2017. Bannamatteeka bakakiiko kebyokulonda ne ssabawolereza wa gavumenti bakiriziganyiza nensalawo eno. Okulonda kwobukiiko bwabakyala kubadde kutandinka nkya.