menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 days 19 hours ago
354 Views

Share this story

Okwokya kalakita: Kasirye Ggwanga atwaliddwa mu kkooti
Ono agamba nti ebikolwa bya kaasirye ggwanga bimufiiriza nnyo , era nga alowooza nti yakafiirwa obukadde bitaano .

Waliwo omusuubuzi atutte Brig.Kasirye Gwanga mu kkooti enkulu, nga ayagala amuliyirire obukadde bitaano.

Ono amulanga kwokya kalakita ye nga 12, augusto 2017 e Lubowa ku luguudo lw’entebbe

Dennis Wakabi Zimba agamba nti aliko abantu babiri abamupangisa nga beeba Andrew Muwonge ne Kassim Sserugo okubaako ettaka lyatereeza oba okusenda nga akozesa tractor.

Kyoka agamba nti bweyali asimbye tulakita nga alinze etekebwemu amafuta, kasirye ggwanga, yawamattuka eri  nagiteekera omuliro .

Ono agamba nti ebikolwa bya kaasirye ggwanga  bimufiiriza nnyo , era nga  alowooza nti yakafiirwa obukadde bitaano .

Ono agamba nti ekyasinga okumwenyamiza kwekuba  nti kasirye ggwanga yasalawo okugenda ku mikutu gyamawulire neyewaana.