menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 37 min ago
434 Views

Share this story

Okusasula bannansi: Tebannakaanya, balumbye bakama baabwe
Abajjanjabi n’abazaliisa nate bazzeemu okulumba wofiisi z’ekitebe ekibagatta e Mulago, nga bagala ababakulembera babannyonnyole webaakomye ne gavumenti ku by’akediimo kaabwe

Olwaleero, ba nnansi n’abazaliisa, omukulembeze waabwe Justus Cherop Kiplangat baguumikidde wabweru wa kitebe kyabwe abeeko by’abannyonnyola.

Olunaku lw’eggulo yabadde abasuubizza okudda okudda n’amawulire amalungi okuva mu lukiiko lwe baabadde bagendamu ne minsitry y’esonga z’abakozi.

Ono yabadde alina okudda n’engereka y’emisaala gyabwe nga gavumenti bweyasuubizza ekintu ky’ataakoze.

Bw’ayingidde akkalire mu wofiisi ye, ne munda bamulumbyeyo ayogere byebategeera.

Olunaku lw’egulo, Cherop yatutegezeezza nga gavumenti bweyakkiriza okwongera ku misaala gyabwe n’ensako kyokka na kati basirifu ku kki abakulu kye baayogedde ku mbeera mwe basula.

Bano bagala omusaala gwabwe gw’ongezebwe ebitundu ebikumi bina ku buli kikumi, nga naasi ali ku ddaala lya ddigiri wakiri afuna obukadde mwenda.