menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 4 days 7 min ago
278 Views

Share this story

Obutabanguko mu maka okweyongela e Busia kisiddwa ku kunywa mwenge n'ebiragalagala
Kugenze kweyongera naddala kukyalo Maranchi, eno abakyala bangi wetwogerera banyiga biwundu.

Obutabanguko mu maka mu district ye Busia,  kugenze kweyongera naddala kukyalo Maranchi, eno abakyala bangi wetwogerera banyiga biwundu.

Mariam Swaleh, ow’emyaka 21, kati omutwe gwe gujjudde ebiwundu oluvanyuma lw’okukubibwa bba we, nga amulanga kumunoonya, bweyali  takomyeewo ekiro.

On, wetwogerera anyiga biwundu ku mutwe ebyamutusibwako, kyoka nga agamba nti tebaba kuba babunyinza kumutasa, oba olyaawo byandibadde bibi.

Ku kyalo kyekimu, kwekuli Anna Wasi, ono nga kati kyalina z’enkovu eziraga ebizze bimutuusubwako, olwa muganda wa bba okumukuba olutatadde.

Abatuuze ku kitundu bagamba nti esonga z’obutabanguko mu maka poliisi tezikwata kyenkanyi, kyoka omwenge n’ebiragalalagala byebivuddeko emitawana gino mukitundu kyabwe.

Tugezezzako okwogera n’addumira poliisi e Busia nagana okubako kyayogera kunsonga zino, kyokanga okusinzira ku alipoota eva e Busia, emisango bisatu eby’obutabanguko mu maka  gyegyaalopebwa ku poliisi pmwaka 2016.