menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 14 hours ago
379 Views

Share this story

Okukuuma obutonde bw’ensi: Ssentebe Mapinduuzi akubye abalaalo e Gulu emiggo
Mapenduzi akulembeddemu ekikwekweto ekyo kugoba abalalo abesenza ku ttaka lyabwe nga balundirako nte sako n'okwokya amanda

Olwaleero Ssentebe wa district ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi, akulembeddemu ekikwekweto ekyo kugoba abalalo abesenza ku ttaka lyabwe nga balundirako nte sako n'okwokya amanda.

Bano mu kibira eno, gyebokera amanda bateeko eyo ne baala, era nga basangiddwa ne crate za beer, obuveera bwa Warag, kyoka nga basimbayo n'enjaga.

Kino kyongedde okunyizza ssentebe ne ttiimu ye era gyebigweredde nga obusisiira bwabano bwokeddwa sako n'abatuuze abamu okukubibwa emboko, n'enjaga nesanyizibwaawo.

Ekibira kisanyiziddwaawo, era nga awasinga bwetuuka olaba nku na birombi by'amanda.

Mapenduzi agamba nti okusalawo okukola ekikwekweto kino ku Balalo, kivuude kukibiira okusanyizibwaawo, ekitadde obutonde bwensi mu matiga.

Waliwo omutuuze alumiriza bane nti ettaka bali pamgisa Abalalo kyoka bwebatuuka okubagamba baliveeko nekifuuka ekizibu.

Ebibiina byobwannakyeewa bisanyikidde enkola ya Ssentebe Mapenduzi era nebisuubzi okuwaayo ssente okulwanyisa okusanyaawo ebibira.

Mukitundu kino kigambibwa ekibira ekiweza kirometres 15, kyekisanyiziddwaawo, era nga kino kiralirikiriza abakulembeze b'ekitundu.

Guno mulundi gwa kubira nga ekikwekweto bwekiti kikolebwa okugoba Abalalo, kyoka olwaleero abakwatiddwa batwaliddwa ku poliisi.