menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 5 days 14 hours ago
507 Views

Share this story

Ssente za takisi: Abagoba baazo basiimye Museveni
Bano bambalidde abamu ku abakulembeze b’ekibuga be bagambye nti bali mabega w’obuvuyo obubadde bugenda mu maaso mu bya ttakisi

Aba ttakisi abekiwayi ekikulemberwa Musitaafa Mayambala bagabiibizzamu nga beebaza abakulembeze baabwe olw’okuwoza obulungi olutabaalo ew’omukulembeze w’eggwanga n’asobola okubawonya omusolo gwa buli mwezi.

Bategeezezza nti mu lutabaalo battunse n’abaabadde bawagira ekyomusolo gwomwezi President naalondako abatuufu.

Bano bambalidde abamu ku abakulembeze b’ekibuga be bagambye nti bali mabega w’obuvuyo obubadde bugenda mu maaso mu bya ttakisi.

Ne poliisi nayo tebagitalizza era bagirabudde.

Oluvannyuma lw’okuggusa ekyomusolo, bagamba obwanga babwolekezza ababadde babatulugunya.

Olukiiko lwetabiddwamu ne bannannyini ttakisi abazze okulaga obumu.

Nga omusolo gubasonyiyiddwa abagoba basabiddwa obutaseera basaabaze mu biseera byennaku enkulu.