menu

Mobile Search

You are here

You are here

Minista Janet Museveni alabudde ababba ebigezo n'abongeza fiizi
Alabudde abenyigira mu kubba ebibuzo nabo abagenda okuwa abaana abali mu kyo musanvu ebibuzo nga okukasa oba balina okwewandisa oba Pre-Registration. Ministule era ettegezeza nga wegenda okubakombamu obwala

Nga ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lwokutongoza ebigezi bya ekibiina ekyo musanvu Minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni ayongedde okulabula abo bona abagenda mumasso nokubba ebigezo, era nebategeza nga kati bagamba nti kino kyabulabe eri eggwanga lya Uganda.

 

Abakungu okuvva mu minustule y’ebyenjigiriza bongedde nokulabula abasomesa abawa abaana ebigezo nga tebenaba kwewandisa okusobola okukakasa oba basobola okutula ekyo musanvu era Ministule eyesizza ekiragilo nti kino ki komekerezzebwe.

 

Ku nsonga ya school fees, Ministule erabudde amasomera naddala aga siniya agateekateeka okwongeza ensimbi za fees nga tebategezeza Ministule mu butongole.

 

Ministule eggamba nti egenda mumasso nokula nga ekuganya ensimbi okulaba nga bafuna abasomesa abawerera ddale enkumi satu mu siniya okulaba nga bayambako okusomesa abaana abeyongedde obungi abavva mu masomero ga pulayimale.

 

Ggo amasomero agatalina layinsisi, gategezeddwa obutatawana kugulawo mu mwaka 2018.


 

Minisita w’ebyenjigiriza era ayogedde ku bikoleddwa Ministule mu kitundu kyo mwaka ekisoka ogwa 2017 era nga wano webagenda okutandikira okulaba nga bongerezako okutumbula ebyenjigiriza bya Uganda