menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 months 1 week ago
432 Views

Share this story

Babiri bafudde mu kabanje e Mityana
Basatu bbo bavuddewo nabisago era baddusiddwa mu ddwaaliro e Rubaga.

Fuso okukoona ttakisi, egisanze esimbye ku mabbali g’ekkubo e Bujuuko nga egenda kutikka  musaabaze. 

Bw’etomedde ttakisi egisindiikiriza mmita eziwera nga 10 bw’emaze n’egigwira mu kikko ebbali w’ekkubo.

 

Omugoba wa ttakisi Robert Tamale ne Lillian Nakawooya omutuuze w’e Gayaza ng’abadde musomesa ku ssomero lya Sharp Star Primary School be bafiiriddewo.

Basatu bbo bavuddewo nabisago era baddusiddwa mu ddwaaliro e Rubaga.

 

Omu ku babadde bayimirizza ttakisi okugirinnya nga tennatomerwa annyonnyodde bwe gwabadde.

 

Abadduukirize ensobi bagitadde ku mugoba wa FUSO.

 

Ttakisi yonna esaanyewo era ebipapajjo byayo bisikiddwawo breakdown ya police.

 

Ye omugoba wa FUSO kigambibwa, nti olwamaze okukola akabenje n’ateekako kakokola tondeka nnyuma.

 

Poliisi etandise okunoonyereza ekyavuddeko akabenje kano era n’erabula ab’ebidduka abasimba ebbali w’ekkubo okwegendereza n’abali ku kkubo okwewala endiima.