Abazadde nabayiizi abatuula ebigezo byekibiina ekyomusanvu mu masomero agengyawulo bakedde kweyiwa ku masomero gwabwe, era abasinga amawulire gebigezo gabanze kusomero.
Era abasinga amawulire gano baganiriza nakubibya nakubukira nakusambira wagulu nga mayanzi.
Ku masomero okuli Kampala parents, City Parents, Bright Junior School Makerere, saako Mbuya parents namalala, abafunye obubonero obuna batubulidde ekyabasobozeseza okutuka ku kino.
Wabula abamu ku bayiizi, bevumye ekibuzo kyokubala saako noluzungu okubalemesa okufuna obubonero obuna.
Ku masomero agamu abayiizi abayitidde wagulo babatonedde e Mbuzi saako nokubasalira caaki okubayozayoza okutuuka ku buwanguzi.