menu

Mobile Search

You are here

You are here

Abakuumi bo'mulamuzi Bamugemereire katabalwanagane ne Military Poliisi mu kibiira ky'eKajjansi
Akakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemereire k'ezoobye nabaserikale bamagye abagambibwa nti bakolagana n'omugaga ategerekese nga Eria Mubiru okweza ettaka ly'ekibira erisangibwa e Kajjansi ku luguudo lw'entebbe

Omuserikale wa maggye ali kuddala lya meeja Edson Akanyihayo ono nga akolera mu nkambi yamaggye eya military poliisi e Makindye ebigambo bimukalidde kumatama bwatute basajabe n'emiggo okwanganga abantu batamanyi okukakana nga agasimbaganye n'omulamuzi Bamugemereire.

 

Bino byabadewo akawungeezi k'egulo Bamugemereire n'abakakiiko bwebadde bava mu bitundu by'entebbe kyoka bwebafunye amawulire nti waliwo abantu abali ku ttaka lyekibira nebakyamawo.

Babadde bakyakunya abavubuka bebasanze nezilwetiye tractors nga zisenda ettaka neziretta omuserikale William Bonge.

 

Bonge yabadde awerekedwako omujaasi ku ddala lya meeja Edson Akanyihayo era baze bw'eswanta kyoka kyababuseko okusanga nga bano babadde bakakiiko ka Bamugemereire.

 

Meeja Akanyihayo yaze akalala n'ekiwandiiko kya kooti.

 

Kyoka omulamuzi bweyakimijeko kyabadde kibagaana okusalimbira ku ttaka.

 

Ye omujaasi William Bonge yategezeza nti ettaka lyamukamawe Eria Mubiru.

 

Kyoka Meeja Edson Akanyihayo agambibwa nti yabadde asindikidwa Eria Mubiru bano yabeganyi nti tabanyi.

 

Omulamuzi bweyalabye nti embeera eyinza okusajuka wakati wa poliisi emukuuma n'abamilitale yalagidde omujaasi William Bonge n'abasangidwa nga basenda ettaka batwalibwe  ku wofiisi  z'akakiiko.

Kigambibwa nti ettaka lyekibira eryatwalibwa liweza yiika 350.