menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
260 Views

Share this story

Ssaabasumba Lwanga yekokkodde abalimba, nga atongoza olunaku lw’evvu
Nga abulira Ssaabasumba Lwanga alaze obwenyamivvu olw’abantu abagufudde omuze okuleeta abaana ku nguudo mu bibuga nebabayingizaamu omuze gwokusabiriza ensimbi.

Abakristu olwaleelo babukereza nkokola ku luttiko e Lubaga okwetaba mu misa  egulawo ekisiibo ky’omwaka 2018.

Misa ekkulemebeddwaamu  ssaabasumba we ssaza lye Kampala Cyprian Kizito Lwanga.

 

 

Nga abulira Ssaabasumba  Lwanga  alaze obwenyamivvu olw’abantu abagufudde omuze okuleeta  abaana ku nguudo mu bibuga nebabayingizaamu omuze gwokusabiriza ensimbi.

Obulimba obufumbekedde mu bannayuganda nabwo abuvumiridde

 

 

Ono alina obubaka obuva ewa Paapa bwawadde abakristu.

Ssabasumba akalatidde  abakristu okwebuulirira mu kisiibo.

Oluvanyuma  abakristu  benyigidde mu kusaaba vvu,  akabonero akalaga enakku 40 yesu kristo omulokozzi zeyamala nga yeebonereza n’okufiirira abakrisitu .