menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
342 Views

Share this story

Ababundabunda batandise okweyiwa e Kisoro olw’okulwanagana okuli e Congo
Okulwanagana kweyongedde mu ggwanga lya DRC wakati wakabinja ka Mai Mai saako n’abayekera ba natura mu kitundu kye Kivu nga kino kiviriddeko ba nansi ba Congo okudduka mu maka gaabwe okusobola okutaasa obulamu. Bangi ku bano baddukidde mu district ye Kisoro wano mu Uganda.

RDC we Kisoro Shafiq Sekandi agamba nti omuwendo gw’ababundabuda buli lunaku gweyongera.

Okusinziira ku  RDC, ababundabunda 12.000 bebakawandikibwa okuva mu January w’omwaka guno.Olw’okuba nti mu DRC, ensonga y’okugema tetekebwako nnyo ssira, kino kireseewo okutya nti ababundabunda bandiyingira n’endwadde nezikomekkereza nga zikutte bannayuganda.Emirimu nagyo gyeyongedde okusanyalala ku nsalo ye Bunagana olw’ezimu ku mmotoka okutya okuyingira Congo.