menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 3 days ago
372 Views

Share this story

Ababadde balina okukungaanya omusaayi ku kiteebe kya FDC tebalabiseeko
FDC eweze nti singa abekitongole ky’omusaayi tebabawa nsonga ematiza lwaki tebalabiseeko, bakukunga bannakibiina okuzira okugaba omusaayi.

Ab’ekibiina kya FDC bakukulumidde ab’ekitongole ekikunganya omusaayi ki Uganda Blood Transfuison Services obutalabikako ku kitebe kyabwe gyebabadde bakunganyirizza abantu okugaba omusaayi.

Aba FDC bagamba baawandiikira abekitongole kino era nebakkaanya okuggya leero okukunganya omusaayi wabula kibewunyisizza ate bano okubefuulira.

Kati baweze nti ssinga abekitongole ky’omusaayi tebabawa nsonga ematiza lwaki tebalabiseeko, bakukunga bannakibiina okuzira okugaba omusaayi.