menu

Mobile Search

You are here

You are here

Waliwo abazirakissa abatandise okujjuna eyatemwako omukono e Masaka
Ono bba Asuman Sekidde yeyamutuusa ku buzibu nga omulanga kuzaala balongo bbali wadde nga yali yamulekawo emyaka musanvu miramba

Regina Namatovu omukazi gwekwakulaga nga bba okuva e Rakai amutemyeko emikono , saako okumutemaatema omutwe  afunnye abamujjuna . 

 

Ono bweyava mu ddwaliro e masaka yatya okuddayo e Rakai bwatyo nafuna weyewogoma e Kalisizo natandika okutunda amatooke mu biwagu nemyera.

 

Ku lunaku lwabakyala twakutusaako emboozi nga ono ayagala buyambi okusobola okweyimirizaawo. 

 

Kati abakulu mu kibiina ki Masaka District Association  of people with Disabilities and living with HIV/AIDS baliko ensimbi zebamutwalidde asobole okwongera mu bizineesi ye .

 

Ono bba Asuman Sekidde yeyamutuusa ku buzibu nga omulanga kuzaala balongo bbali wadde nga yali yamulekawo emyaka musanvu miramba