ENKUBA E KASESE : 10 bafiiridde mu kuyigulukuka kw’ettaka n’amataba
Abantu 10 bebabakakasibwa okuba nga baafudde oluvanyuma lwamataba nokuyigulukuka kw’ettaka ebyavudde ku namutikwa wenkubadde eyatonnye ku byaalo ebiwerako mu district eye kasese.Enjega eno yaguddewo mu kiro ekyakesezza olunaku lwa gyo era nga olunaku lw'eggulo kaweefube yabadde wakunoonya okuzuula emirambo Abaakoseddwa basabiddwa okujira nga baddukira ku makanisa namasomero agali mu bifo gyebayinza okwewogoma.