ABAKOSEBWA ENKYUKAKYUKA Y’OBUDDE :Bannakyewa baagala ssente z’ensako eyassibwawo zongerweko
Waliwo bannakyewa abalwanirira obutonde bwensi abaagala ensako eweebwa amawanga agasinga okukosebwa ebizibu ebireetebwa enkyukakyuka mu mbeera y’obudde eyongezebweko okuva ku bukadde bwa ddoola 400 okudda ku buwumbi bwa ddoola 400.
Ensimbi zino zaateekebwawo olukungaana lw'amawanga amagatte ku nkyukakyuka y'obudde olwatuula mu kibuga Dubai omwaka oguwedde, era nga amawanga musanvu geegaziganyulwamu omuli ne Uganda.
Bannakyewa bagamba nti ng’ogyeko amawanga omusanvu agali ku lukalala oluganyulwa mu ssente zino, amawanga mangi geyongedde okukosebwa ebibamba ebyenjawulo ebiva ku nkyukakyuka y'obudde.