AMABAGO G’EMISOLO EMPITYA: Eby’okugekenneenya bijulidde mande ya wiiki ejja
Okwekenneenya amabago ku misolo gavumenti gy'eyagala okuleeta mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja kugudde butaka oluvannyuna lw'abamu ku babaka okwemulugunya nti gaaleetedddwa awatali kugoberera mateeka ageetaagisa .Etteeka eryabuusiddwa amaaso lye li Public Finance Management Act erirambika nti buli bbago nga terinaba kukolebwako lirina okuwerekerwa ekiwandiiko ekiraga butya bwerigenda okuyamba oba okukosa eby’enfuna by’eggwanga ki Certificate Financial Implication.Kati ensonga zijuliddwa mande ya wiiki ejja .