BAAKUNGUBAGIDDE MUKYAMU: Gwe baabise e Mityana nti yattiddwa, azuuse nga mulamu
Abatuuze ku kyalo Mwererwe mu gombolola y’e Bulera mu distulikiti y’e Mityana basobeddwa ekka ne mu kibira oluvanyumwa lw’okufuna amawulire g’okufa kwa mutuuze munaabwe kyokka n’ekizuuka nti akyaali mulamu tteke Eyabadde abikiddwa y’e Dennis Sekyewa nga kigambibwa nti yabadde atemuddwa mu bukambwe era n’omulambo gwe negukwasibwe ab’enganda zze nga bamazze okukasa nti ddala y’e muntu waabwe.
Kyokka ab’engaanda ate kya babuseeko Sekyewa okukomezebwaawo mu maka ga bakadde be nga naye asobeddwa olw’okufuna amawulire ku kufa kwe.