EKIZINGA KISIMA: Amazzi ga Nalubaale geeyongedde okusalako
Abatuuze abawangalira ku bizinga bya Kisima ne Rwabitooke mu Jinja East Divizoni basobeddwa eka ne mukibira oluvanyuma lw'ennyanja Victoria okubooga , ekivuddeko amazzi okwanjaala mu nnyumba zaabwe. Embeera eno bakagimalamu emyezi ebiri ekibatadde mu katyabaga k'okufuna endwadde eziva ku bukyafu .Bano baagala gavumenti ebadduukirire .