OKULAMBULA EDDWALIRO LY’E LUBOWA :Ababaka tebagenze neera, eby’okwambala tebinnakolwako
Ebyakakiiko ka PAC akalondoola esasaanya ya ssente z’omuwi w’omusolo okulambula awazimbibwa eddwaliro ey'ekikugu e Lubowa bijulidde neera oluvannyuma lw'a minisitule y'ebyobulamu okuwandiikira palamenti ng'ensaba okulambula kuno kwongezebweyo.
Minisitule y'ebyobulamu egamba nti omuwendo gw’ababaka abalina okugenda mu kifo kino gusuka mu makumi ataano nga n’olwekyo akizimba yetaaga obudde obumala okubateekerateekera ebintu bye bagenda okukozesa okulambula omuli gumboots, reflector Jackets, ebikoofiira oba helments ebitaliwo mukiseera kino.
Ssentebe w’akakiiko kano Muwanga Kivumbi alowooza nti bino byonna bigendererwamu kubalemesa kugena mu kifo kino