OKUWANDIISA KW’OKUFUNA NDAGAMUNTU: E Luwero aba NIRA basiibye bakunga bakulembeze
Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda Gen. David Muhoozi alabudde ba ssentebe b’ebyalo ne ba mbega ba government ku magomolola oba ba GISO okwewala okulya enguzi n’ebakirizza abagwiira okwewandiisa okufuna endagamuntu y’eggwanga. Gen. Muhoozi ng’ali wamu n’abakulu okuva mu kitongole okivunanyizibwa okuwandiisa banna Uganda ki NIRA olwaleero basiibye Luwero nga bamanyisa abakulembeze mu bbendobbendo lino ku nteekateeka y’okuwandiisa bannayuganda okufuna ndagamuntu n’okuzza obuggya ezo ezigenda okugwako.