Omuzannyo gwa ‘sketboarding’: Olugendo lukyali luwanvu
Mu mwaka gwa 2005, Munnayuganda Jackson Mubiru yatandikawo ekisawe ky’omuzannyo gwa Skate boarding e Mutungo gy’azaalibwa oluvannyuma lw’okuguyigira ku Munnansi wa South Africa shaw Swat gweyasisinkana e Lugogo Omuzannyo guno mukisera ekyo ogwali gutanatekebwa ku lukalala lw’emizanyo gya Olympics, kati wetwogerera gwegumu ku mizannyo egigenda okwetabwamu mu Olympics z’omwaka guno ezijibwako akawuwo nga 26 ogw’omusanvu mu kibuga Paris ekya Bufalansa. Wabula ebyembi tewali munnaUganda yayitamu kwetaba mu mpaka zino mu muzannyo gwa skateboarding.