Abakulira ekibuga Kampala e Masaka bateeseza ku nkulaakulana y'ebibuga byombi
Minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda ng’ali wamu n’oludda olwe kikugu mu kibuga Kampala bagenze e Masaka okulaba engeri emirimu gyegitambuzibwamu mu butale n’enguudo okulaba butya bwebasobola okutereeza empeereza yabwe eri bannakampala.
Bano basoose kusisinkana bakulembeze mu kibuga Masaka okuli bannabyabufuzi n’ab’oludda olw’ekikugu okubabuulira ku butya bwebasobode okutuusa Masaka ku nkulaakulana mu butale n’engudo.