E Kiryandongo, amataaba gasazeeko amakubo gaabwe
Abatuuze okuva ku byalo bisatu mu district y’e Kiryandongo basobeddwa oluvanyuma wa namutikwa w’enkuba eyatonye navaako amataba agasazeeko amakubo gona. Bagamba bamaze ebbanga nga basubizibwa okukolebwa enguudo wabula kino kikoma mu bigambo okuvira dala mu kakuyege wa 2020.