Kabaka akyafuna bujjanjabi e Germany: Katikkiro agamba kwali kusalawo kw'abasawo
Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga abuulidde Obuganda nga ssabasajja kabaka bwakyali mu ggwanga li Germany gyefunira obujanjabi, oluvanyuma lw’abasawo okumutegeeza nti baagala bamujanjabe nga bamulabako.
Ono agambye nti kabaka ali mu mbeera nnungi, kyoka nga okuddakwe kujja kusalawo basawo bennyini. Kyoka katikkiro akkiriza anga bwayita mu kusomoza olwobutabaawo bwa kabaka.