Obuyiiya mu bavubuka: Waliwo abavumbudde ekyuma ekikuba bulooka
Waliwo abavubuka abatuuze ku kyalo Bukasa mu muluka ggwe Kyetume e Mukono abayiiyizza ekyuma ekikuba bulooka ez’ettaka ezitetaaga na kumala kwanika wadde okutabula ettaka.
Ekyuma kino baakiyiiya bakyasoma ku ssomero li Fairmount S.S, oluvanyuma lw’okuyita mu bugubi nga bakuba bulooka beweerere.
Mu kaseera kano baagala abateekamu nsimbi bakole ebyuma ebirara, kibayambe nokweyongerayo mu kusoma.