Omukazi asudde omwana ku kasasiro: Agamba omusajja tamuwa buyambi
Abakulembeze b’e Kazo Muganzirwaza B mu gombolola y’e Nansana mu Nansana bakutte omukyala asudde omwana ow’emyezi 2 mukasasiro.
Ekyewunyisa omwana ono abadde mulamu, era nyina Shanita Namuyaba olwamusudde n’adduka okutuusa lwebamunoonyeza nebamusanga ku kyalo ekiddako.
Omukazi yeekwasa taata wa mwana butamuwa buyambi.