Abakulu mu kibiina ki NUP olwaleero batutte okwemulugunya kwabwe eri kkooti etaputa ssemateeka okwemulugunya ku tteeka li Uganda People’s Defence Forces (Amendment) Act, 2025, lyebagamba nti liyisa olugaayu munsalawo ya kkooti ensukkulumu (supreme court) ewakanya ekyokuwozesa abantu babulijjo mu kkooti ya magye.Mumpaaba yabwe, bavunaana sipiika wa palamenti okukkiriza okuyisa etteeka eryo mu palamenti, minister we byokwerinda Jacob Oboth Oboth olwokuleeta etteeka eryo kwossa ne saabawolereza wa government. Bano bebaweza abantu 16 abazze nga bemulugunya ku tteeka lino mu kkooti eno.