Omulamuzi wa kkooti enkulu ey’e Masaka Fatumah Bwanika Nanziri ataddewo olwa nga 22 August saabiti ejja okuweerako ensalaye ku kusaba okwokweyimirirwa okukoleddwa bannamateeka babakumi ba pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi ssentamu bana abaludde nga bali mu kkomera.Bano okuli Achilleo Kivumbi,Mugumya Gadafi, Edward Ssebuufu ne Grace Wakabi bavunaanwa gwa kukuba bannamawulire kko n’okubbisa eryanyi mu kuziika okwali Lwengo omwaka oguwedde.Bannamateeka baabwe balaze esuubi nti kyadaaki abantu baabwe bandiyimbulwa.