Wabaddewo akanyoolagano ku kyalo Maya -Bujjasi mu Kyengera Town Council wakati wa bazzukulu b’omugenzi Gabdiel Byandala Matovu naba Mukajumbe Bujjasi bakaayanira ettaka eritudde ku bugazi bwa yiika nkaaga. Bano batuuse n’okusenda ebiggya ebibadde ku ttaka lino kko n’ebizimbe,ekitabudde bazzukulu ba Byandaala ne bava mu mbeera. Poliisi etubuulidde nti ekutte abantu 15 bavunaanibwe ogw’okusalimbira ku ttaka lino.