Ab’e Butaleja ne Tororo Museveni abasuubizza okumaliriza enguudo

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era nga y’akwatidde ekibiina ki NRM mu lwokaano lw’abeeyagaliza obwa Pulezidenti asuubizza abatuuze be Butalejja nga bw’agenda okulwana okulaba ng’enguudo ezisinga mu disitulikiti ye Butalejja ziyiibwa koolasi mu kisanja kino ekijja, singa bamala ne bakkiriza okumuuwa ekisanja eky’omusanvu. Ono ababuulidde nga bwewaliwo enguudo ezikandaaliridde okuli oluva e Nabumali–Butaleja okutuuka e Namutumba n’oluva e Tororo–Nagongera okutuuka Busolwe, kyoka nga nazo zigenda kumalirizibwa kubanga ensimbi zaalabise. Bino abyogeredde mu kisaawe kye Butalejja ekikulu gyasiibye nga yeekungira obuwagizi.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *