Aba UEDCL batubuulidde nga bw’e bagenda okukolamu emirimu
Abakulira ekitongole ekivunanyizibwa ku by'okugula n’okutuusa amasanyalaze ku batuuze ekiggya ki UEDCL kibuulidde abatuuze ng’empeereza yabwe bwetanakyuka okuva ku y’ekitongole ki UMEME ekyasiibudde.Bano okuvaayo kiddiridde abantu okutandika okwemulugunya nga nabamu tebamanyi watuufu webaddukira kufuna buyambi.Omusasi waffe Dorothy Naggita ayogeddeko n’omwogezi wekitongole kino.