Abaakosebwa e Kiteezi n’egye buli eno tebannaliyirirwa gavumenti
Abatuuze abaasimattuka okuyigulukuka kwa kasasiro we Kiteezi nakati bakyasaba gavumenti ebaliyirire batandike obulamu obuggya.Bangi ku batuuze bano tebaakoma ku kufiirwa bantu baabwe naye namayumba gaabwe kasasiro yagabuutikira, nga mu kaseera kano abasinga bali mu buzigo gyebapangisa, abalala basula mu mikwano gyabwe.Kati nga kyewaggye wayite emyezi kyenkana etaano nga enjega eno eguddewo , tuzeeyo e Kiteezi netwogerako nabatuuze abaasimatukka.