Abaserikale abaawalula omukazi biboononekedde
Akakiiko akakwasiisa empisa mu poliisi kawabudde nti abaserikale abaakwatibwa ku katambi nga bawalula omukazi mu bitaba nga bamugombamu obwala bagobebwe mu kitongole. Bano akakiiko kaabaggulako emisango era ng'olwaleero babadde mu kwewozaako mu bitundu by'e Mbarara. Abaserikale bano abana, baakwatibwa oluvannyuma lwakatambi akaakwatibwa okusasaanira emikutu gya social media. Kyokka tukulabula nti ebimu ku bifaananyi by'ogenda okulaba biyinza okukujja mu mbeera.