‘‘Akalulu Kabe Ka Buwaze’: Akakiiko k’eby’okulonda kaagala tteeka
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda awadde ababaka ba palamenti ekirowoozo nti wetaagisawo etteeka erigenda okuwalirizza bannayuganda okulonda nga agamba nti gavumenti ekozesa ssente nnyingi okugula ebintu ebikozesebwa mu kulonda kyoka abantu ne batakujjumbira.
Abaddukanya akakiiko babadde balabiseko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’amateeka akali mu kwetegerezza embalirira yaabwe ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 nga baawereddwa obuwumbi 594.