E Wakiso waliwo babiri be bauddemu ekirwadde kya Ebola Sudan
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Wakiso batubuulidde nga bwebazudde abantu babiri abalina ekirwadde ki Ebola Sudan mu kitundu kino.Tukitegedde nti mu kaweefube w’okutangira okusasaana kw’ekirwadde kino amalwaliro abiri gagaddwa saako n’abasawo abawerera ddala 21 bayawuddwa ku banaabwe nga bwebekebejjebwa.Mu kaseera kano omuwendo gw’abakakwatibwa ekirwadde kino gutuuse ku bantu musanvu.