‘EBIZIBU BYAMMWE SIBIMANYI’: Museveni asabye ab’e Kawempe balonde NRM
Omukulembeze w'eggwanga era Ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni asabye banna kawempe okulonda munna NRM mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North kubanga yaasobola okumutuukirira okumutegeeza ebizibu byabwe ebibaruma. Olwaleero abeesimbyewo mu kawempe lwebakomekkereza enteekateeka zaabwe ez’okusaggula obuwagizi