‘Eddie Mutwe’ akomyewo mu kkooti, azze alaga embeera ye ekyali mbi
Omukuumi wa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu nga ye Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe olwa leero akomezeddwawo mu kkooti e Masaka okuwulira ekiddako ku misango egimuvunaanibwa. Mutwe alabise nga akyali mu mbeera mbi ddala era ategeezezza kkoooti nti tafuna bujanjjabi butuufu bw'asaanidde kufuna. Ono yasooka kubuzibwawo abantu abataategeerekeka wabula oluvannyuma omuduumizi w'amagye Gen. Muhoozi Kainerugaba n'akyasanguza nti ono y'amulina.