EKIFO KYA KAWEMPE NORTH: NUP ewandiisizza 10, baakukubaganya ebirowoozo
Akakiiko k’e byokulonda mu Kibiina ki National Unity Platform kateseteese okukubangaya ebirowoozo okwawamu eri abeegwanyiza ekifo ky’obubaka bwa Kawempe North okulondamu agwanidde.Leero akakiiko kano lwekakomye okusunsula abeeyagaliza kaadi ya NUP okuvuganya ku kifo kino,era webuwungeeredde ng’abantu 10 bebeesowoddeyo.Tukitegedde nti ku nsonga enyingi ze bagenda okwesigamako okusalawo gwebawa bendera,kuliko n’okunnyonyola abatuuze mu lwatu byagenda okubakolera.