Ekivundu mu Nnyanja Nalubaale: Ab’e Luzira amaka gaabwe gabanyiye
Abatuuze abaliraanye embalama z’enyanja n’addala mu bitundu nga Luzira,batubuulidde nti bandiwaliriribwa okusenguka mu maka gaabwe, nga omutawaana guva ku kivundu ekiva mu mazzi g’enyanja Nalubaale.Bano bagamba nti ebikyafu ebiggwera mu nyanja nga biva mu makolero agali okumpi n’e nyanja kwekuvudde omutawaana.Abakulu mu minisitule ye by’amazzi baliko byebaanukudde.