EMPAKA ZA VOLLEY BALL:KCCA eri mu kwetegekera eza kiraabu empanguzi
Kkiraabu ya KCCA ey’abakyala abazannya Volleyball yabakanye dda n’okwetegekera empaka za kkiraabu empanguzi mu muzannyo guno ezimanyiddwa nga CAVB Zone V Club championships ezigenda okubeera e Lugogo okuva nga 26 omwezi gùno. Bano baakwata kifo kyakutaano mu mpaka ezaayita ezaali e Rwanda.