Katikkiro e Kyaggwe akunze abalimi b’emmwanyi obutaggwamu maanyi
Okunnyikiza kaweefube w’okulima emmwanyi, Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Kyaggwe okulambula ssaako okuzaamu abalimi amaanyi ku kye bbeyi erabika nga esse. Agamba nti embeera bwtyo tebanafuya kubanga obudde bwonna ebbeyi egenda kuddamu okulinnya.Akalaatidde abavubuka okwettanira ennimiro okusinga emirimu emirala.