“Muzimbe ekitindiro ku Semliki”: Ababaka b’e Ntoroko basabye gav’t ku ky’amataba agatakoma
Ababaka abava mu disitulikiti ye Ntoroko baagala gavumenti ekole ekisoboka okutindira ekitundu ekyasigalira awayita amazzi agaleeta amataba mu bitundu bya disitulikiti eno .Olunaku lw'eggulo bano balambudde ekifo awaatindirwa ekitongole ki FAO ne bakizuula nti wakyaliwo ekitundu kinene amazzi ga Semliki wegawaguliza ekyetaaga okutindirwa okusobola okunogera ekizibu kya’matamba e Ddagala .Bbo abaafiirwa amayumba gaabwe baagala gavumenti ebeeko engeri gye baliyirira .