‘Mwewale ebiragalalagala’ Balaam alubudde abavubuka e Hoima
Minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara alabudde abavubuka e Hoima okufuba ennyo okwewala ebiragalagala ebisemberedde okumalawo abavubuka mu ggwanga. Bino Balam abyogedde bw'abadde ayogerako eri abavubuka abakatolika abeetabye mu lusirika olw’ennaku ettano mu kibuga kye Hoima. Kyoka yye ssabasumba w’e ssaza ekkulu elya Kampala His Grace Paul Ssemwogerere asinzidde wano okuvumirira ebikolwa ebyobuli bwenguzi ebyeyongedde ennyo mu gwanga.