NUP egenda mu kkooti—eyagala ekake gav’t eyimbule abawagizi baabwe
Ab'ekibiina ki National Unity Platform nabo batubuulidde nti baakuddukira mu kkooti olunaku lw'enkya, nga baagala ekake gavumenti eyimbule abantu baabwe abakyali mu nkomyo ku biragiro bya kkooti y'amagye kkooti ensukkulumu gye yaggyako obuyinza okuwozesa abantu babulijjo wiiki ewedde. Pulezidenti w'ekibiina kino Robert Kyagulanyi agamba nti obutali bwetengerevu bw'ebitongole bya gavumenti kyekiviiriddeko ekiragiro kya Kkkoti ensukkulumu okulwawoo okussibwa mu nkola.