‘Oba temutusasula ttukomawo’: Abaakosebwa enjega y’e Kiteezi balabudde KCCA
Abatuuze abaakosebwa enjega y’akasasiro eyabumbulukuka n’aziika abantu n’ebintu byabwe e kiteezi omwaka oguwedde balaze obw’ennyamivu olwa gavumenti okuvaayo n’etegeeza nga bwetalina ssente zakubaliyirira.Kiddiridde abakulu mu KCCA olunaku olw’eggulo okutegeeza nga bwebataataddemu ssente zaakuliyirira bantu bano mu mbalirira y’ekitongole ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.Kati bano baagala gavumenti waakiri ebakkirize baddemu okuzimba mu bibanja byabwe.