OKUJJANJABA KKANSA :E Mbarara abasawo baagala bikozesebwa n’eddagala
Abasawo abakugu mu ndwadde ezenjawulo mu disitulikiti ye Mbarara baagala gavumenti ebawe eddagala n’ebikozesebwa ebimala okusobola okujjanjaba ekirwadde kya Kkansa kye bagamba nti kifuuse baana baliwo ensangi zino .Okwogera bino bano babadde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’okulwanyisa Kksansa oguyindidde e Bwizibwera .Bano bagamba nti kibennyamiza okukebera abalwadde nga bwe babazuulamu kkansa ate tebalina ddagala lya kubawa .