Okulwanyisa amataba mu kibuga: KCCA etandise okuwenja ezizimba emyala
Ba kansala ku lukiiko lwa KCCA bakirizigazinyiza ku kiteeso ky’okuwaliriza minisitule ya Kampala okukomyaawo ensimbi obuwumbi 18 bweyegabanya kw'ezo obuwumbi bwa ddoola 48 ezeewolebwa okuyambako mu kukola emyala.Bagamba mu kiseera kino tebalina nsimbi za kuzimba myala mu bwangu okutaasa ku bulamu obufiira mu mataba, nga balina kutandika kutetenkanyiza kw'ezo ezikola ebintu ebirala.