Okulwanyisa ekiwamba-baana :Abaawamba ow’e Masaka bakwatiddwa
Poliisi e Masaka ekutte abavubuka babiri abagambibwa nti be baali mu kkobaane ly’okuwamba omwana ow’emyaka 7 n’ekigendererwa eky’okuggya ku bazadde be ensimbi.Kigambibwa nti bano baateega omwana Ali Wasswa bweyali agenda ku ssomero lya St. Edward Primary school e Ddimo mu ggombolola ye Kyesiiga mu district ye Masaka nebamuteeka ku ppikippiki nebamutwala e Kakuuto-Kyotera nebatandika okukubira bazadde be amasimu nga babakanda ensimbi obukadde 25.