Poliisi ekutte abakungu ba minisitule y’ebyensimbi ku bya ssente za Bank Of Uganda
Ekitongole ky’abambega ba Poliisi kitubuulidde nga bwekikutte abantu musanvu ku byekuusa ku buwumbi obusoba mu 60 obwabibwa mu banka enkulu eye gwanga.
Ayogerera poliisi mu ggwanga Rusoke Kituuma atubuulidde nti abakwate baludde ebbanga nga babakuumiddeko eriiso, okutuusa lwebafunye obukakafu obumala.Bano akadde konna bagenda mu maaso ga mulamuzi.